Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 174 listening Simba FM Live
News

Akalulu ka NRM e Ssembabule kadiddwamu

August 13, 2025 · Mubiru Ali
Ebyokwerinda mu Disitulikiti y’e Ssembabule ku Kisaawe binywezeddwa nga Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM baddamu okulonda Ssentebe w’Ekibiina owa Disitulikiti oluvannyuma lwokusazaamu ebyava mu kalulu akaliwo nga 23 May.
Okulonda balagira kuddibwemu oluvannyuma lwebigambibwa nti Minisita Anifa Kawooya yenyigira mu mivuyo mu kalulu kano. Kawooya avuganya ne Munnmaggye eyawummula Rtd. Maj. Gen. Phenihas Katirima. Eggombolola ye Bulongo abaayo bbo tebakiriziddwa kwenyigiramu olwokubeera n’enkalala z’abalonzi ezitankanibwa.
#ffemmwemmweffe