Mukuumira abaana abawala mu masomero – Minisita Nabakooba
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba olunaku olwaleero akiikiridde omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga ku mukolo ogwokukoza olunaku lw’abasomesa olw’ensi yona mu Disitulikiti y’e Katakwi. Minisita Nabakooba akubirizza abasomesa n’abatuuze okulaba nti bakuumira abaana abawala mu masomero ekijja okubayamba okukendeeza ku mikisa gyokukwatibwa akawuka akaleeta mukenenya wamu n’okufuna embuto nga tebanetuuka.
Minisita agamba nti okuukumira abaana abawala mu masomero kakodyo akakola obulungi okuyamba ku kulwanyisa okusomoozebwa abaana abawala kwebasanga omuli okufuna embuto nga bakyali bato wamu nakawuka ka siriimu. Ayongeddeko nti okunoonyereza kulaga nti abaana abawala abasigala mu masomero okutuuka ku mitendera egyawaggulu omukisa gwokukwatibwa akawuka akaleeta mukenya gubeera ku bitundu 50 ku 100.
Nabakooba akubirizza abazadde n’abasomesa okufuba okulaba nti abaana teboosa naddala mu masomero ga Gavumenti nga nabasomesa kwobatwalidde kino kijja kuyamba okutumbula ebyenjigiriza.
Nabakooba era agumizza abasomesa nti Gavumenti terina kigendererwa kyakubasosola wabula bonna yakubatunulamu kukyokubongeza omusaala. Bino abyogeredde ku ssomero lya Apuuton Primary School erisangibwa mu Disitulikiti y’e Katakwi.
Leave a Reply
Want to join the discussion?Feel free to contribute!