bataano bakwatiddwa e buvuma lwakutiisatiisa mubaka Migadde

Abantu bataano bakwatiddwa poliisi mu disitulikiti y’e Buvuma ng’entabwe eva ku kibaluwa ekyalimu obubaka obutiisatiisa okutta omubaka w’ebizinga by’e Buvuma mu palamenti, Robert Migadde Ndugwa ne ssentebe w’eggombolola y’e Busamuzi Charles Ayisu.

Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto abakwate agambye nti kuliko; Ibrahim Ocheng ne Isma Nawedde nga bano bavuzi ba bodaboda, Livingstone Maka ng’ono musumba w’abalokole, Stephen Musene ne Kuliya. Butoto agambye nti Musene ne Kuliya baateebwa ku kakalu ka poliisi naye nga ku Mmande bano bazzeeyo ku poliisi ne beeyanjula.

Yategeezezza nti bano bavunaanibwa musango gwa butujju oguli ku fayiro nnamba CRB032/2019 wabula nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza.

Yagambye nti nga January 17, omuntu atannategeerekeka yawa abavuzi ba bodaboda 2 ebbaasa eyalimu ebbaluwa n’abalagira okugitwala mu woofiisi ya DISO ng’ono y’akulira okunoonyereza mu disitulikiti eno.

Nga bano batuusizzaayo ebbaluwa eno, Butoto yagambye nti yasangibwa ng’erimu obubaka obw’akabi obwali butiisa okutta Migadde ne Ayisu nga beeyambisa emmundu.

“Abakwate bano tukyabanoonyerezaako okulaba nga tuzuulira ddala amawulire agayinza okutuyamba okutuuka ku kituufu. Wabula njagala okugumya omubaka Migadde ne ssentebe Ayisu baleme kutya kuba eby’okwerinda tumaze okubinyweza,” bwe yannyonnyodde.

Ebbaluwa eno ey’emiko ebiri, yawandiikibwa David Alexander SSeruga ng’era ye yagiteekako omukono nga yagiwandiikira Stephen Musene omutuuze ku kyalo Bugabo-Nkusi mu ggombolola y’e Busamuzi mu disitulikiti y’e Buvuma.

Ebbaluwa eno era eyogera ku mmundu ssatu ezigambibwa nti zaagulibwa bweru wa ggwanga ne zikukusibwa okuyingira okuyita ku bbooda ya Uganda n’e Congo nga 27/12/2018 mbu nga zino ze zookukozesebwa okutuukiriza eky’okutta Migadde ne Ayisu.

Mulimu era omuwandiisi ng’abanja ssente z’omu ku batemu eyatta Peter Kasadha mbu ono yawebwako kitundu ng’endala zaamusuubizibwa ng’amaze okukola omulimu wadde nga ne gye buli kati eyakola omulimu ogwo abadde tafunanga zaasigalayo.

Butoto yagambye nti era poliisi enoonyereza ku kalonda yenna ali mu bbaluwa eno basobole okuzuula oba nga ddala buli kye boogerako mu bbaluwa ge mazima agatuukiridde oba bya ppa.

Bwe yatuukiriddwa mu maka ge ku Mmande, Omubaka Migadde yalaze okunyolwa okulaba ng’amawulire g’ebbaluwa eno yagafuna wiiki nnamba ng’eyiseeko okuva poliisi lwe yalaba ebbaluwa eno ng’emaze n’okubaako abasibe b’ekwata.

“Nze nnali ku mirimu gyange egy’okulambula abantu bange ab’e Buvuma ku Lwokutaano ne ndyoka nfuna amawulire gano okuva kw’omu ku balonzi bange n’ambuuza oba nnali mbiwuliddeko. Nawulira kipya era kwe kukubira poliisi ne mbigibuuza. Owapoliisi yangamba nti ensonga ezo zaali za kyama era ez’obunkenke ezaali zitayinza kwogerebwa ku ssimu n’ansaba ngendeyo. Kye nakola kwe kutuukayo ne babintegeeza,” Migadde bwe yagambye.

Wabula yagategeezezza nti ye ng’omuntu talina nsonga yonna lwaki omuntu yandibadde asalawo okumutemula n’agamba nti wandibaawo abalina bye baagala okuyisaawo. Ku ky’okusaba obukuumi obw’enjawulo, Migadde yagambye nti ye wadde ng’omuntu naye ali mu kutya mu kiseera kino, agamba nti ye tawagira ye kyakuweebwa bukuumi yekka ng’omuntu omu ate ng’abalala okuli n’abantu be tebalina bukuumi.

Mu kiseera kino, amyuka RDC w’e Buvuma Juma Kigongo yagambye nti yawadde aboogerwako mu bbaluwa amagezi mu kiseera kino obutamala nga tebamaze kwekkenneenya byakwerinda mu bifo gye batambulira. Yagambye nti tebalina nakumala gagendera ku bantu babakubira masimu nga tebabamanyi nnyo n’ebibafaako.

Wabula era Kigongo yagambye nti baategeezezza ne be kikwatako ku by’okwerinda nga baagala bakole ku by’okwerinda by’abantu bano.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

4 0 instagram icon
Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973

Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973
...

1 0 instagram icon
Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno.

Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno. ...

10 0 instagram icon
Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga.

Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga. ...

12 2 instagram icon