Minisitule y’ebyettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga efulumizza ebiragiro ebiggya kukutandikawo amasundiro g’amafuta

Minisita avunaanyizibwa ku by’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba Nalule avuddeyo nalaga obwennyamivu ku kweyongera kw’amasundira g’amafuta mu bibuga naddala mu Kampala n’emiriraano (Greater Kampala Metropolitan).
Ono agamba nti kati osobola okusanga amasundiro g’amafuta 10 mu buwanvu bwa Kiromita 1 so nga okusinziira ku biragiro amasundiro 10 gaba mangi nnyo. Agamba nti kino kyongera ku bulabe ku bulamu bw’abantu wamu n’obutonde bw’ensi nga namasundiro mangi gali mu butale oba mu bifo awasula abantu nga mangi gateereddwawo nga tebagoberedde biragiro ku nkozesa y’ettaka n’ebiragiro ebirala.
Nga wano ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ebibuga wamu ne Minisitule gyatwala webyasinzidde okuvaayo nebiragiro ebiggya ebituumiddwa Physical Planning (Planning Conditions for Location of Fuel Stations) regulations 2022 ebitongozeddwa olwaleero.
Mu biragiro ebiggya oyo yenna ayagala okuzimba essundiro alina okusooka okufuna olukusa okuva mu Gavumenti eyebitundu eyekitundu ekyo, asaba olukusa lwokuzimba (Building Permit) wamu n’okunoonyereza ku bulabe ku butonde bw’ensi n’abantu (environment and Social impact assessment) okukolebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya NEMA. N’oluvannyuma asaba olukusa okuzimba essundiro lyamafuta (petroleum facility construction permit). Bino byonna biri mu buwayiro nnamba 3,4, 5 ne 6 obwa physical planning regulations gazetted under situatory instrument of 2022.
Minisita agamba nti ku masundiro ago agazimbibwa mu bifo nga gateeka obulamu bw’abantu abalinanyeewo mu matigga, bakutuula ne bannanyini go balabe ekyokukola, ate ago agazimbibwa nga Bboodi yali egagaanye bakugenda mu mbuga z’amateeka.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply