Minisita w’Obuwangwa n’Ennono alambudde Obutaka bw’Ebika
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala alambudde obutaka bw’Ebika; Abalangira b’Ekibulala n’Ekiwere ebisangibwa mu ssaza Ssingo.
Owek. Wamala asabye abakulu b’Ebika okunyweza obukulembeze n’okusala amagezi ku ngeri gye bakulaakulanyamu Ebika bongere okusikiriza abazzukulu okubyettanira.
Ku lw’Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Namwama, Omutaka Kisolo Muwanga Ssebyoto asabye abazzukulu okwongera okukuuma Obuwangwa n’ennono zaabwe kubanga by’ebibafuula Abaganda.
Minisita awerekeddwako Omumyuka Asooka owa Mukwenda, Mw. Moses Tusuubira Nyombi, Jjajja w’Olulyo Olulangira Ssaalongo Luwangula Basajjansolo n’abaweereza ab’enjawulo okuva mu minisitule gy’atwala.
#ffemmwemmweffe

