Minisita Nabakooba ayingidde mu nkayana z’ettaka e Kassanda

Minisita avunaanyizibwa ku by’ettaka, amayumba n’enteekateeka y’ebibuga Hon. Judith Nabakooba avuddeyo nayingira mu nsonga z’ettaka ku kyalo Kyakatebe
mu Gomgolola y’e Nalutuntu mu Disitulikiti y’e Kassanda abatuuze gyebabadde bawangalira mu kutya nga balowooza nti ettaka lyabwe lyabagibbwako.
Minisita Nabakooba okuyingira mu nsonga zino kyaddiridde abatuuze okwekubira enduulu gyali nga bagamba nti waliwo abantu 2 okuli; David Kabagambire ne Sheikh Faiz Muhamad Wasswa abafuna ebyapa mu lukujjukujju ku ttaka lino.
Kigambibwa nti Kabagambire ne Wasswa bafuna ebyapa bya Freehold okuva mu Mubende District Land Board mu kiteeso nnamba MD/NA/06/V3/146.
Abapunta bakuba ettaka lino nebaliwa Block 308 ne poloti nnamba 175/176 Kyanamugera Estate nga kyakolebwa awatali kwebuuza ku batuuze.
Mu lukiiko olwatudde ku Kyakatebe Primary School, Nabakooba yategeezezza nti okusinziira ku kunoonyereza okwakakolebwa kyeyoleka lwatu nti ettaka lina lya Gavumenti era terigabwa ngako.
Yayongeddeko nti ettaka eryagabwe lya ku kyalo Bukompo-Kanyogoga.
Minisita yalagidde RDC wa Kassanda Pheobe Namulindwa okukolagana ne offiisi y’ebyettaka e Mubende okulaba nti ekiteeso ekigaba ettaka lino kisazibwamu mu bunnambiro.
Yayongeddeko nti olukiiko lw’ebyettaka olwa Disitulikiti y’e Kassanda lugenda kutondebwawo n’oluvannyuma abatuuze bakugendayo bafune ebyapa.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply