Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 200 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Obwakabaka busaasidde Abakkiriza olwokuviibwako Ssaabasumba

April 3, 2021 · Mubiru Ali
OBWAKABAKA BUSAASIDDE ABAKKIRIZA OLWOKUVIIBWAKO SSAABASUMBA:
Mu bubaka bwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti;
“Okufa kwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga okwekibwatukira kukubye Kereziya Katolika ne Uganda yonna enkyukwe.
Nze Ssaabasumba mbadde mumanyi okuviira ddala lwe yatuuzibwa ng’Omusumba wa Kasana – Luweero, era mbadde nkolagana naye okuva lwe yazzibwa e Kampala, nga Ssaabasumba, mu 2006.
Kampuni eya bannamateeka, eya Buwule & Mayiga Advocates, nga nze omu ku batandisi baayo, Ssaabasumba Lwanga yagironda okukola emirimu gy’amateeka egy’Essaza Ekkulu egisinga, awo nembeerera ddala ku lusegere lwe.
Ate okuva lwe nnalondebwa nga Katikkiro mu 2013 mbadde mpuliziganya naye nnyo ku nsonga za Buganda, ne Uganda okutwalira awamu.
Abadde akutegeeza mangu ky’alowooza era amagezi g’abadde awa gabadde gayambira ddala.
Tusaba Omutonzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe”.