Minisita Kasaija ayitiddwa mu Kakiiko ka COSASE

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko ka Palamenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE akakulemberwa Omubaka Munnakibiina kya NUP Hon. Joel Ssenyonyi kalagidde Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija okulabikako gy’ekali annyonyole ku nsimbi obuwumbi 10.6 ezenyongereza zeyasaba mu Palamenti okuliyirira abantu abaali babanja Gavumenti ssente z’ettaka nga bayita mu Uganda Land Commission kyokka nga negyebuli nakati tebazifunanga.
Olwaleero akakiiko ka COSASE lwekabadde kasuubira Kasaija okulabikako gyekali kyokka talabiseeko era Ssentebe waako Ssenyonyi namulabula nti olw’okubiri lwa Ssabbiiti ejja singa talabikako agenda kukwatibwa.
Share.

Leave A Reply