Minisita awadde ekiragiro okuwera waragi woomu buveera

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu Dr. Jane Aceng alagidde Disitulikiti munaana (8) mu kitundu kya Lango omuli; Dokolo, Oyam, Apac, Lira, Kole, Alebtong, Amolatar ne  Otuke okuyisa mangu ddala etteeka eriwera okutunda Walagi woomubuveera.

Kinajjukirwa nti mu mwezi gwa Muwakanya omwaka 2017 Gavumenti yawera okutunda Waragi w’omubuveera wabula n’eyongezaayo akaseera okutuusa mu Mugulansigo wa 2019 olw’okulaajana kw’abasuubuzi abali mu mulimu guno. Wabula kati wetwogerera nga Minisita attukizza eky’okuwera waragi ono ng’agamba nti aviiriddeko amaka mangi okusasika.

Aceng yasinzidde mu kuziika kitaawe Ronald Remmy Apenyo e Corner Atapara mu Disitulikiti y’e Oyam.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Kifeesi Boss transferred to Nalufenya