Tewali mukozi wa KCCA yagobeddwa – Don Wanyama

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Press Secretary wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Wanyama Don Innocent avuddeyo ku bibadde bitambula ku ‘social media’ ku nkyuukakyuuka ezaagalwa okukolebwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA nti amannya agafulumye basembeddwa nga galina okuyita mu kakunguuta. Don agamba nti okugamba nti abali mu offiisi bagobeddwa tekiba kituufu.
Aboogerwako kuliko; Eng. Andrew Kitaka akola nga Executive Director, omumyuuka we Samuel Sserunkuuma n’abal beala 3 nga kigambibwa nti abasembeddwa kuliko; Muky. Dorothy Kisaka, Ms.Sarah Kanyike, Eng. David Luyimbaazi Ssali, Muky. Grace Akullo nga ono ye Commissioner Human Resource mu Minisitule ya Public Service ne Dr. Okello Ayen Daniel.
Wabula kigambibwa nti Eng. Kitaka abadde akolera ku ndagaano ezzibwa obuggya ya myezi 6 nga eno eggwako nga 15-June-2020 ku Bbalaza.

Share.

Leave A Reply