97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Mao yatusuubiza byoya byanswa mu byonna – Councilor Mayombwe

Councilor wa LC3, Luwafu mu Makindye Division era nga ye Nampala wa Democratic Party Uganda, Steven Mayombwe, avuddeyo nanenya Pulezidenti wa DP Norbert Mao olwokubasuubiza ebyoya by’enswa mu lukiiko lwa bonna olwayita.
Ono agamba nti Mao yabasuubiza okwongera ku muwendo gw’Ababaka mu Palamenti abali ku tiketi ya DP nokulaba nti wabaawo obwerufu mu mbalirira y’ensimbi eziyingira nokusaasanyizibwa ekibiina.
Mayombwe agamba nti kati betegefu okuleeta obujulizi ku bisuubizo bye mu lukungaana lwabonna.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply