Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 92 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Oweek. Nakate asaasidde aba Buganda Royal Institute

April 16, 2024 · Mubiru Ali
Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko akedde ku Buganda Royal Institute – Mengo okwongera okubasaasira n’okukubakugiza olw’okufiirwa abayizi mu kabenje akaaliwo ku lw’omukaaga ku luguudo lw’e Garuga.
Ssenkulu w’ettendekero, Oweek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu amubuulidde ebyaliwo ku mbeera y’ekikangabwa kino ekyagwawo omwafiira abayizi abana n’ababiri okuvaawo n’ebisago. Era ategeezeza nti abasawo bagamba omu ku bali mu ddwaaliro akubye ku matu, okuggyako omulala akyali mu mbeera ey’okwetegereza ennyo.
Abayizi babiri baazikiddwa olunaku lw’eggulo ate abalala baziikibwa leero era abasomesa ne bayizi bannaabwe bagenze okubawerekerako wakati mu mbeera ekyali ey’ekiyongobero ku ttendekero.