Mao ne banne bafunye ssente okuva ewa Saleh okutegeka olukiiko lwa bonna – Hon. Lumu
Omubaka akiikirira Mityana South, Richard Lumu, ngono yesimbyeewo ku kifo kya Ssaabawandiisi wa Democratic Party Uganda (DP), agamba nti waliwo Abakulembeze mu Kibiina abasisinkanye Chief Coordinator wa Operation Wealth Creation (OWC), Gen. Salim Saleh, okufunayo ssente okutegeka olukungaana lwabonna olubindabinda.

