Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 324 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Kitalo! Abantu 4 bafiiridde mu kabenje e Kassanda

August 16, 2023 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde mu ttawuni y’e Myanzi mu Disitulikiti y’e Kassanda mu kiro ekikeesezza olwaleero ku luguudo lwa Mityana – Mubende. Abantu abalala 3 bbo babuuseewo nabisago oluvannyuma lw’emotoka ekika kya FUSO nnamba UAY 415C ebadde etisse amatooke ngebadde eva Mubende ngedda Kampala okulemererwa okusiba negwa neyefuula ku ssaawa mwenda ezookumakya.
Abalumiziddwa kuliko; Nambusi Grace 40, nga mutuuze w’e Kikajo, Namasuba, Bright Patrick 34, ow’e Kibiri-Busabaala ne Nadunga Lydia 42, omusuubuzi w’oku Kalerwe. Abalumiziddwa baddusiddwa mu Ddwaliro e Mityana.