Lwaki COSASE enoonyereza ku ttaka kkooti enkulu lyeyasalawo nti nalifuna mu butuufu – Sudhir

Ssentebe wa Meera Investments, Dr. Sudhir Ruparelia avuddeyo nawakanya eky’Olukiiko olukulu olw’eggwanga okuvaayo okunoonyereza ku ngeri gyeyafunamu ettaka eriri ku Plot 24 ku Kampala Road mu kibuga Kampala wadde nga Kkooti enkulu yavaayo n’ekiwandiiko ekikakasa nti ettaka lino yalifuna mubutuufu.
Palamenti nga eyita mu kakiiko kaayo akalondoola emirimu gy’ebintongole bya Gavumenti aka Committee on Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE), enoonyereza ku mivuyo egyaliwo mu kweddiza eby’obuggagga omuli ebizimbe n’ettaka ebiwerera ddala 460 by’abayindi abadda okwabwe mu gye 70.
Abakungu okuva mu kitongole kya Departed Asians Properties Custodian Board kyatadde ku lukalala Plot 24 eri ku Kampala Road, eya Meera Investments Limited nga ekimu ku by’obuggagga ebyafunibwa mu kavuyo.
Ruparelia, nga 14 – August – 2019 yawandiikidde omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga nga yebuuza lwaki akakiiko ka COSASE kaddamu okunoonyereza ku ttaaka kkooti enkulu lyeyasalawo nti yalifuna mu makubo matuufu mu 2012.
Sudhir agamba nti ettaka lino yaligula mu 1995 era nga Custodian Board bweyawankanya ekyo nebagenda mu kkooti bwetyo Kkooti enkulu nesalawo eggoye nti yalifuna mu butuufu. Sudhir agamba nti Custodian Board teyavaayo kuwakanya nsala ya Kkooti nga kati yewuunya lwaki bakyagenda mu maaso n’okukomyawo ettaka lino.
Nga December 20, 2012, Omulamuzi Joseph Murangira owa Kkooti enkulu mu kitongole ekitawulula ensonga z’ettaka mu Kampala yawa ensala ye nagamba nti Meera Investment yatuukirira abaali banannyini ttaka lino aba Rameshchandra Bhowan Kataria n’omugenzi Kershavlal Premchard Shah bwebaaali tebanafuna certificate of repossession era nebakiriza okuguza Sudhir ettaka lino.
Omulamuzi yategeeza nti DAPCB yakiriza nti kituufu Meera Investment yassaayo okusaba kwayo okugula ettaka lino okuva ku bannyini lyo nga terinabaddizibwa.
Bino byeyolekera mu bbaluwa eyali eddamu okusaba ettaka lino okuddizibwa abaali bannyini lyo eyawandiikibwa nga January 5, 1995 (repossession certificate eya March 31, 1995) neteekebwako omukono Sam S. Male.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

1 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

23 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon