Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 456 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Kkolera y’akatta 3 e Kasese , 80 bapookya .

October 2, 2017 · Mubiru Ali

Abantu basatu be baakafa oluvannyuma lw’ekirwadde kya kkolera okubalukwawo mu Disitulikiti y’e Kasese ssabbiiti ewedde ate abalala 80 bali mu malwaliro bapookya.
Okusinziira ku Dr. Alphose Gatare akulira eddwaliro lya Bwera General Hospital, agamba nti bano abasatu baafudde lunaku lwa jjo

Dr. Gitare agamba nti eddwaliro lino libade likyalafuubana okufuna eddagala erijjanjaba ekirwadde kya Kkolera okuva mu tterekero lya Gavumenti ery’eddagala erya National Medical Stores.

Eddwaliro ly’e Bwera liriraanye ensalo ya DRC ebadde etawaanyizibwa ennyo ekirwadde kya Kkolera nga n’oluusi abalwadde babadde bava e Congo nebasala okudda e Uganda ku ddwaliro.