LUMBUYE OKUKWATIBWA KYAMUGWANIDDE – MINISITA OKELLO ORYEM

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru Okello Oryem avuddeyo nategeeza nti Blogger Fred Kajubi Lumbuye tali waggulu w’amateeka. Abadde ayanukula Bannamawulire ku bigambibwa nti Lumbuye yakwatiddwa. Okusinziira ku Bannayuganda abawangalira mu Instanbul-Turkey bagamba nti Lumbuye yakwatiddwa abantu abatanategeerekeka.
Abakungu okuva mu Minisitule y’Ensonga z’ebweru bagamba nti bakyalinda okufuna obubaka okuva ku kitebe kya Yuganda mu Ankara abagamba nti nabo tebanategeezebwa bitongole bya Turkey kubikwata kukukwatibwa kwa Lumbuye. Minisita agambye nti naye akiwuliddeko nti akwatiddwa, naye bwaba akwatiddwa olw’omusango gweyazza, tewabeera nsobi kumukwata. Ayongeddeko nti omuntu yenna azza omusango mu nsi yonna abeera alina okuvunaanibwa. Minisita agamba nti yewuunyizza nti abantu basaasira omuntu omuntu eyazza omusango sso nga buli omu yandibadde ajaganya nti akwatiddwa.
Banne ba Lumbuye bagamba nti yakwatiddwa ku kitebe kya Yuganda mu Turkey bweyabadde agenze okuzza obuggya ppaasippooti ye.
Share.

Leave A Reply