Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 350 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

MV Sigulu egezeseddwa ku nnyanja Nalubaale

June 29, 2019 · Mubiru Ali

Emmeeri ya MV Sigulu ebadde ezimbibwa e Masese, Walukuba – Masese Division mu Jinja Municipality okumala emyezi 10 egiyise egiddwako engalo era nga wetwogerera lyagezeseddwa ku Nnyanja Nalubaale mu lugendo lwalyo olusoose. Emmeeri eno eriko awajanjabirwa, ebinaabiro, kabuyonjo, ekifo awatuula abakungu, ekirabo ky’emmere wamu n’ebifo omuwumulira abakozi.
Ekoleddwa okutikka abantu 300.
Lino liteekeddwa mu mazzi nga beyambisa ‘tractor’ 2 era nga okusinziira ku avunaanyizibwa ku bye mmeeri, Herbert Mutyaba agamba nti eryato liteekeddwa mu mazzi n’obwegendereza okwewala okwabya ‘balloon’ ate ekiyinza okuvaako obuzibu.
Emmeeri eno ezimbiddwa egenda kuba nga eva e Namayingo bwetyo nga eyolekera ekizinga Ddolwe.