Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 270 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Lukwago alayiziddwa ng’omumyuuka wa Pulezidenti wa FDC

September 13, 2021 · Mubiru Ali
Ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC evuddeyo olunaku olwaleero neyanjulira abawagizi baayo ne Bannayuganda enkyuukakyuuka zeyakoze mu bukulembeze bw’ekibiina ku mutendera gw’obukulembeze obwawaggulu.
Ekibiina kitegeezezza nti mu nkiiko za NEC nnamba 216 olwa Aug 13 2021 ne nnamba 217 plwa Sep 10 2021 bakiririzza wamu ng’enkuyege okulonda Erias Lukwago nga akola nga omumyuuka wa Pulezidenti (Buganda) ngaddira Owek. Nabbosa Ssebuggwawo mu bigere.