Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 441 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

mulekerawo okutunda ettaka – gaajule

January 29, 2019 · Mubiru Ali

Omukubiriza w’akakiiko lw’abataka mu Buganda ate nga y’akulira ekika ky’Embogo; omutaka Kayiira Gaajuule agugumbudde Abaganda abafunvubidde okwetundako ettaka kyokka okunenyezebwa ne bakussa ku bakulira obusolya bw’ebika nti be batunze ettaka lya Buganda okulimalawo.
Ono yasinzidde mu kulamaga kw’ekiggwa ky’ab’ekika ky’Ekinyomo ku kyalo Kyasa mu ggombolola y’e Kyannamukaaka e Masaka okubeerawo buli mwaka, n’agamba nti ekisinze okuzza Buganda emabega kwe kwekutundibwa ettaka okulese Abaganda bangi nga beeyaguza lujjo.
Ono yasabye Abaganda okukomya okwetundako ettaka n’agamba nti ettaka kye kimu ku by’obugagga Buganda kw’esibidde olukoba okuva edda n’edda!.

Omutaka Gajuule era yakubirizza Abaganda bulijjo okujjumbiranga okulamaga mu biggwa by’ebika byabwe kibasoboze okukulaakulanya n’okwongera okunyweza obumu mu bika byabwe.