Kkooti y’amaggye eyimbudde abadde avunaanibwa okwagala mukyala wa munne

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abawaabi b’eggye lya UPDF baggye emisango ku musirikale wa UPDF L. Cpl John Nuwagira ngono abadde avunaanibwa gwakutuula mu kifuba kya mukama we Lt. Robert Turyahabwe bweyali ali ku mirimu emitongole ebweru w’eggwanga.
Oludda oluwaabi lwali lugamba nti mu mwaka gwa 2021 mu nkambi y’e Makenke esangibwa mu Disitulikiti y’e Mbarara, Nuwagira yatandika okubojerera ekinakanaka kya Annet Kobusingye eyali mukyala wa Turyahabwe bweyali e Somalia ngaweereza.
Nuwagira yegaana omusango. Nuwagira yakwatibwa nga 8-March-2022 oluvannyuma lwa Turyahabwe eyali omuwaabi ku Kakiiko akakwasisa empisa aka unit disciplinary committee (UDC) mu kaseera ako okuvaayo nategeeza nga Nuwagira bweyamuttira amaka ge yaleka e Mbarara mu 2019.

Ebyazuuliddwa biraga nti Kobusingye yegaana okubeera omufumbo ne Turyahabwe nga agmba nti ono teyamuwasa mu butongole ekimuwa ebbeetu okufumbirwa omuntu gwayagala.
Omusango bwegwaleeteddwa mu Kkooti yamaggye olunaku lweggulo eyabadde ekubirizibwa Brig Robert Freeman Mugabe, abawaabi okwabadde Pte Regina Nanzala, Anthony Phillip Olupot ne Lt Gift Mubehamwe bavuddeyo nebategeeza Kkooti nga bwebabadde bagugyeemu enta.
Nuwagira abadde mu kkomera okumala emyezi egisoba mu musanvu nga yaggalirwako e Makenke ne mu Nkambi ya Military e Makindye.

Share.

Leave A Reply