Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 348 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omu ku bagambibwa okubba ssente okuva mu maka g’omuwanika wa NRM akwatiddwa

January 29, 2024 · Mubiru Ali
Uganda Police Force ekutte omuvuzi wa Booda Booda, Ivan Lukungu 25, ateeberezebwa okwenyigira mu bubbi bwa ssente eziwerera ddala obuwumbi 2 n’obukadde 200 nga zino zabbibwa mu maka g’omuwanika w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM, Barbara Nekesa Oundo e Muyenga mu December w’omwaka oguwedde ng’ennaku z’omwezi 15.
Ono yasangiddwa mu kibuga ky’e Masaka nga kigambibwa nti ku ssente zino abadde yeguzeeko emmotoka ekika kya Harrier “Kawundo”, ettaka, ennyumba, naggulawo ekirabo ky’emmere, saako okuwasaako omukyala n’amukolera ne bizinensi.