Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 921 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwanyi kibayodde

April 18, 2018 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwanyi mu ggwanga ekya Uganda Coffee Developement Authority kiriko ekikwekweto kyekikoze mu Disitulikiti  okuli Mityana, Mubende, Ggomba, Mpigi, Kiboga ne kikwata abasuubuzi, abalimi n’abebyuma eby’emmwanyi abatyoboola omutindo gw’emmwanyi.

Ekikwekweto kino kikulembeddwamu akulira omutindo gw’emmwanyi mu kitundu ekya Western Region Steven Balikulungi ng’ono agambye nti omutindo gw’emmwanyi za Yuganda gubadde gugudde ku katale k’ensi yonna nga kino kiva ku bantu abaanika emmwanyi mu ttaka, abanoga embisi,n’abebyuma ebikuba emmwanyi embisi.

Wabula abamu ku bakwatiddwa nga bano basangiddwa nga balina emmwanyi embisi basabye basonyiyibwe nga bagamba, nti abalimi bebazisuubulako beebabaguza emmwanyi embisi.

Mu bano abakwatiddwa mwemubadde ne nnamukadde ow’emyaka 80 ng’ono asoose kwegaana mmwanyi nga bwezitabadde zize kyokka oluvannyuma n’akkiriza era ne yeetonda.