Kkooti ewadde Erias Lukwago obukadde 50

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Henrietta Wolayo yavuddeyo nalagira Gavumenti eriyirire Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago obukadde 50 olw’engeri Uganda Police Force gyeyamukwata ku makya nga 21-September-2017 mwebamunyigira obusajja bwe nakaaba mu bulimu mu maaso ga kkamera. Omulamuzi agamba nti kuno kwali kulinyirira ddembe lye, kiswaza nti era Poliisi okuyingira mu maka ge agasangibwa e Bulwa mu Rubaga kwali kulinyirira ddembe lye kuba tebalina search warrant.

Share.

Leave A Reply