Kitalo! Ow’emyaka 17 yetugidde mu ttooyi e Mukono

Entiisa ebutikidde abatuuze mu Industrial Area e Mukono oluvannyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omwana wa mutuuze munaabwe nga guleebetera mu kabuyonjo ya waka oluvannyuma lw’okwetuga.
Mayega Fahadi nga ono abadde yekolera gyalejjalejja mu kibuga Mukono omuli okutambuza sumbusa, ebigere byente ebifumbe n’emirimu emirala yanyiize neyeyimbamu ogwa kabugu.
Sowedi Kabugo nga ono ye Taata w’omugenzi agamba nti yakomyewo awaka ku ssaawa 3 ez’ekiro wabula nategezebwa nga Mayega bweyabadde yegalidde muttooyi era nga banne bamwegayiridde aggulewo wabula neyerema ekyamuwaliriza naye okugendayo alabe ogubadde namuyita nagaana okuggulawo bwatyo naye namwenenya ngalowooza nti enjala bwenamuluma ajja kwenyula aggulewo abayite ayingire munju.
Wabula kibabuuseeko ku makya bwebatumye muto we omulenzi okulaba oba nga yamaze navaamu muttooyi wabula asanze wakyali wasibe bwatyo nawalampa alabe agenze okulaba nga Mayega alangejera ku muguwa bwatyo nadduka nategeeza abakulu nebakowoola ab’obuyinza abazze bunnambiro ne bamenya oluggi lwa kabuyonjo okusobola okuggyayo omulambo.
Waliwo omu ku b’Oluganda atayagadde kulabikira mu katambi ategeezezza nga ono bweyaswadde oluvannyuma lw’okukola ekikolobero nasobya ku mwannyina era nga bweyakitegedde nti bakadde be bakitegedde nasalawo okwetta. Ono agamba nti kino aba Famire bakisirikidde olw’okutya okuswala.
Bya Yiga Dalton

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply