Ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka ku Poliisi y’e Kakiri kitandise okunoonyereza ku kabenje akafiiriddemu omusirikale wa Poliisi Kadede Sulah. Akabenje kagudde ku kyalo Busaku, mu Namayumba Town Council ku luguudo lwa Kampala-Hoima mu Disitulikiti y’e Wakiso ku ssaawa nga ssatu ezekiro. Kigambibwa nti PC Kadede ne PC Dramviku babadde bagenze kulaba motoka nnamba UAV 727G T/MARK 11 grande eyabadde etomodde ebyuuma byokunguudo, era bwababadde bagitikka ku kasiringi motoka nnamba UAQ 541P T/SPACIO eyabadde eva e Kampala nebayingirira nebatomera nettirawo PC Kadede ate ye PC Dramviku ne Ddereeva wa Kasiringi nebalumizibwa byansusso.
Kitalo! Owa Spacio atomedde owa Traffic namutta
Share.