Kitalo! Owa LDU akubye Munnamawulire amasasi namutta

Pinterest LinkedIn Tumblr +

KITALO!!
Munnamawulire Robert Kagolo akubiddwa amasasi agamutiddewo e Kasengejje mu Disitulikiti y’e Wakiso mu lumbe lwa Muganda we.
Okusinziira ku mumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire agamba nti aba Famire basabye omuduumizi wa LDU mu kitundu okubawa obukuumi awaka era nabawa aba LDU 2, nti wabula omu ku bbo yafunyeemu obutakaanya ne Kagolo mukavuvugano omulala namukuba amasasi nafiira mu kubo nga addusibwa mu Ddwaliro lya St. Joseph e Wakiso.
Luke agamba nti tamanyi oba kino kyabadde kigenderere, wabula Poliisi yabakanye dda noggwayo ogwokunoonyereza.
Owa LDU eyasse Kagolo kigambibwa nti ye Rashid Mamuli.
Kagolo yaliko Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamawulire mu Uganda ekya Uganda Journalists Association (UJA)

Abadde muweereza ku laadiyo ya Gavumenti eya Star FM

Share.

Leave A Reply