Breaking
News: Awali Omukka-Aishai-Muleme kulowooza nti Uganda mwagisuubula! Bantu mmwe bino sibyansikirano! News: Eyali Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Maj. News: Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwefunye akatambi kano akasaasanidde omutimbagano akalaga kabangali ya Poliisi ngettomera omuntu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 326 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Museveni yakulemberamu obuli bwenguzi – Besigye

July 10, 2024 · Mubiru Ali

Eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwabadde ayogerako eri Bannamawulire olwaleero e Katongo avuddeyo nanenya Pulezidenti Museveni wamu n’obukulembeze bwe nategeeza nti Pulezidenti Museveni yakulira obuli bw’enguzi mu Uganda. Besigye anokoddeyo ebintu ebyenjawulo ebyoleka obulyake wamu n’okukozesa obubi obuyinza bino nabinenyeza Pulezidenti olwokulemererwa okugonjoola ebizibu bya Bannayuganda. Ono ategeezezza nti wasaanye okubaawo enkyuukakyuuka mu byobufuzi mu bwangu era nasaba Bannayuganda okuvaayo bateeke abakulembeze baabwe ku ninga baveeyo ku bigenda mu maaso mu Ggwanga.