Kitalo! Omuwagizi wa NUP Marinos afudde
Kitalo!
Munnakibiina kya National Unity Platform Marinos Alexandros nga mutuuze w’e Mbuya eyavaayo nategeeza nga yakayimbulwa mu mwaka 2022 nti yali akwatiddwa abebyokwerinda nga bamuvunaana okukuba ennyimba za Pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, afudde.
Mu katambi Marinos keyekwata agamba nti basooka nebamulabula okulekerawo okukuba oba okuwuliriza ennyimba za Bobi Wine nti wabula bweyalemerako abebyokwerinda bamukwata era nebamutulugunya ssaako n’okumusobyako.
Okusinziira ku Pulezidenti wa NUP Kyagaulanyi agamba nti Marinos yawambibwa nga 30 March 2022 e Mbuya era bweyayimbulwa nanyumya ebimukwatako nti batandika okumunoonya ekyamuviirako okuddukira mu Ggwanga lya Kenya mu kibuga Nairobi nti wabula neeno bagezaako okumuwamba naddukira mu nkambi UNCHR.
Ayongerako nti mukuwambibwa yatulugunyizibwa ssaako n’okumukaka akaboozi ak’ekikulu ngeno gyeyavunira endwadde eziwerako omwali n’akawuka akaleeta mukenenya.

