Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 484 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi ekutte musajja waayo eyabba piki piki gyebakwata ku CPS

February 28, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police SCP Enanga Fred avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Kampala Metropolitan bweyakutte musajja waayo PC Ahabwe Michael eyadduka ku Poliisi ya CPS oluvannyuma lwokubba piki piki ya y’omuvuzi wa booda booda Walusimbi Samuel.

Piki piki ya Walusimbi yali ekwatiddwa mu kikwekweto kya Poliisi y’ebidduka era omusirikale ono nemuweebwa okugitwala mu yard ya CPS wabula teyagituusa era nabulawo ne CPS.

Ono yagedde e Mbarara gyeyekweka oluvannyuma neyegatta ku kkampuni ya SGA Security Company, ng’omukuumi era nasindikibwa ku mulimu nga 20.01.2024 ku kkampuni ya Uganda Electricity Transmission Company Ltd, eno oluvannyuma lw’enaku 18 zokka nga 16.02.2024, yakwatibwa olwokubba ebyuuma.