Kitalo!
Abantu 7 bafiriidde mu kabenje n’abalala 11 nebalumizibwa byansusso mu kabenje ka bbaasi akagudde e Namayonjo mu Disitulikiti y’e Nakasongola mu kiro ekikeesezza olwaleero. Okusinziira ku mwogezi wa Traffic Charles Ssembambulidde agamba nti bbaasi nnamba UAQ 643W eya kkampuni ya Roblyn Coaches etomedde loole ebadde ku mabbali g’ekubo nnamba UAX 001Y.
Bbaasi ebadde eyolekera Disitulikiti y’e Kitgum. Okusinziira ku OC wa Nakasongola Police Station agamba nti Ddereeva wa Bbaasi abadde avuga sipiidi ate nga tewabadde kiraga nti waliwo emotoka eyafiiridde ku kubo. Abantu 5 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 2 nabafiira mu kubo nga batwalibwa mu ddwaliro.
Menu