Bakubye omusirikale wa Poliisi nebabba emmundu

Poliisi nga eyambibwako amaggye batandise ekikwekweto mwebanoonyeza abasajja babiri abatolose mu kadukulu ka Poliisi mu Oyam Disitrict ne bakuliita n’emmundu.

Robert Atim, 38 ne Bernard Ochan, 30 nga bonna batuuze be ggombolola y’e Myene mu district y’e Oyam bebatolose ku ku Poliisi ya CPS mu Oyam.

Bano  bakubye omusirikale wa Poliisi Daniel Aluku eyabadde akuuma nebamubbako emmundu nnamba UG POL 564804 28-24076. Aluku naye yakwatiddwa nga akuumirwa ku Poliisi ya CPS Oyam.
John Peter Ematu, nga ye mwogezi wa Poliisi mu mambuka ga Kyoga yagambye nti batandise dda okunoonya abasajja bano nga bayambibwako eggye lya UPDF abakuuma ekkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Fall National Park.

Bano bali bakwatiddwa ku musango gw’obubbi era nga baali benyigira mukuyigga ensolo z’omunsiko.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
‘Nkomawo mu Ggwanga akadde konna’ – Kadaga