CEC YEJJA OKULONDAWO SIPIIKA OBA MWAGALA OBA TEMWAGALA – Hon. Nankabirwa

CEC YEJJA OKULONDAWO SIPIIKA OBA MWAGALA OBA TEMWAGALA; https://youtu.be/TTOSOL0xGKI
Nampala wa Gavumenti mu Palamenti Hon. Ruth Nankabirwa avuddeyo nakalambira nti olukiiko lwa Central Executive Committee (CEC) olwa National Resistance Movement – NRM lwakukola okusalawo okwenkomeredde ku ano ggwebanasimbawo ku kifo kyobwa Sipiika owa Palamenti eye 11.
Ono bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ategeezezza nti bonna abanesimbawo ku kifo kya Sipiika bakusunsulwa olukiiko lwa CEC okulaba nti basigaza omuntu omuntu omu mu lwokaano.
Era ategeezezza nti abantu 7 avuganya ku kifo ky’omumyuuka wa Sipiika nabo bakuyita mu kakunguuta bafuneko omu.
Nankabirwa agamba nti enteekateeka zigenda mu maaso ez’olusirika lw’ababaka ba NRM nga lugenda kubeera Kyankwanzi. Atabukidde emikutu gy’amawulire gyagamba nti gikoze ky’amaanyi okukuma omuliro n’okutondawo olutalo wakati wa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga ne Jacob Oulanyah.

Leave a Reply