Kenya erangiridde omuggalo omulala

Pinterest LinkedIn Tumblr +
KENYA ERANGIRIDDE OMUGGALO OMUGGYA:
Pulezidenti wa Kenya Uhuru Kenyatta olunaku olwaleero alangiridde ebiragiro ebipya mu kulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 nga eggwanga kati ligaddwako ekitundu. Ekibuga Nairobi wamu n’amasaza agawerako agakiraanye gateereddwa mu muggalo nga amasomero wamu n’amabbaala mu bitundu bino gagaddwa mbagirawo.
Mu kwogera kwe ategeezezza nti okuyingira Nairobi n’amasaza amalala 4 nga okukozesa oluguudo, eggaali yomukka oba ennyonyi yadde okufuluma bikoma leero ekiro ku ssaawa mukaaga.
Okweyongera kwobulwadde kweyolekedde mu Nairobi, Kajiado, Kiambu, Machakos ne Nakuru.
Kenyatta ategeezezza nti enkungaana zonna omuli n’okusinza biyimiriziddwa mbagirawo nga amasomero ago gokka agali mu bigezo by’abasawo gegakiriziddwa okusigala nga maggule.
Curfew akomezeddwawo okumala emyezi 12 nga atandika ssaawa bbiri ez’ekiro okutuusa ssaawa kumi ezokumakya.
Amabbaala gagaddwa nga ebirabo by’emmere nga bikiriziddwa kukola ‘take away’ byakusigala nga biggule wabula tebirina kutunda mwenge.
Share.

Leave A Reply