KCCA emenye ebizimbe ku ppaaka empya

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA olunaku olwaleero kikedde kumenya bizimbe byekigamba nti byazimbibwa mu bukyamu okwetoloola ppaaka ya Takisi empya nga kigambibwa nti bino byazimbibwa ku payipu za kazambi.
Bannanyini bizimbe bino kigambibwa nti bazze bajukizibwa buli entakera okubimenya nga buteerere.
Kigambibwa nti tewali bintu by’abasuubuzi byonooneddwa kuba baweereddwa omukisa okubiggyamu.

Add Your Comment