Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 844 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Bobi Wine bamugaanye okukuba olukungaana e Kitgum

November 11, 2020 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Twatuuse e Kitgum ku ssaawa mwenda ez’okumakya netusanga emisanvu mu kubo eriyingira Disitulikiti. Batugambye nti babadde n’ebiragiro ebitatukiriza kuyinira mu Disitulikiti eno. Okusooka babadde batugambye nti Pulogulaamu yaffe yabadde ekwataganye ne y’omulala eyesimbyeewo okutuusa ekiro bwetwayigedde n’Akakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission Uganda.
Batututte ku Wooteri ya Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti nebatutegeeza nti webatufunidde ekifo wetulina okwogerera. Batugambye nti tulina okwogerera mu kifo ekyesudde ekibuga nebagezaako okutugaana okutuuka e Kitgum.
Wabula abantu b’e Kitgum bakigaanye nebatweyungako, wadde tetukubye lukungaana lwaffer wabula abantu b’e Kitgum basitudde eddoboozi lyabwe.”