HE. Samia Suluhu alonze omumyuuka we

Pinterest LinkedIn Tumblr +
HE. SAMIA SULUHU ALONZE OMUMYUUKA WE:
Pulezidneti wa Tanzania Samia Suluhu Hassan yalonze Minisita w’Ebyensimbi eyalabwako mu katambi nga awakanya ekyokulwala #COVID-19 wabula nga akolola nnyo Philip Isdor Mpango ng’omumyuuka wa Pulezidenti.
HE. Samia Suluhu amusembye olwaleero nekirangirirwa Sipiika wa Palamenti Job Ndugai n’oluvannyuma nebamukubaganyako ebirowoozo.
Dr Mpango yazze mu kifo kya HE. Samia Suluhu Hassan eyafuuka Pulezidenti oluvannyuma lwa Pulezidenti John Pombe Magufulu okufa.
Bwabadde ayogerako eri Palamenti oluvannyuma lw’erinnya lye okusomebwa Dr. Mpango agambye nti abadde takisuubira naye mwetegefu okukola omulimu n’amaanyi.
Philip Mpango mukugu mu byenfuna nga yakolako ne mu bifo ebya maanyi mu World Bank.
Share.

Leave A Reply