Hajati Minsa Kabanda yagenda okukwatira NRM bendera ku kifo ky’Omubaka wa Kampala Central
Abantu 2 bavudde mu lwokaano nebalekera Minisita wa Kampala Hajati Minsa Kabanda okukwatira ekibiina kya National Resistance Movement – NRM ku kifo ky’Omubaka wa Kampala Central.
Abantu 3 bebali besowoddeyo okugenda mu kamyuufu ka NRM okuli; Kabanda, Charles Nambavu ne Baker Kyambadde wabula Nambavu ne Kyambadde bavudde mu lwokaano, Kabanda nalangirirwa okukwatira ekibiina bendera ngatavuganyiziddwa.
#ffemmwemmweffe

