Breaking
News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 374 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

DGAL eyagala okugula ekyuuma ekikebera emyaka gyabantu kya buwumbi 2, mususe okulimba emyaka!

February 26, 2026 · Radio Simba

DGAL eyagala okugula ekyuuma ekikebera emyaka gyabantu kya buwumbi 2, mususe okulimba emyaka!

Ekitongole kya Directorate of Government Analytical Laboratory (DGAL) kyavuddeyo nekijjukiza Palamenti obwetaavu bw’obuwumbi 2 kibasobozese okugula ekyuuma ekizuula emyaka gyabantu emituufu nga tebesigamye kwebyo ebiweebwayo nga basinziira ku bbaluwa z’obuzaale.
Kepher Kuchana Kateu, Director w’ekitongole kino agamba nti obwetaavu bwobuweereza buno bweyongedde okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa kukuwandiisa abantu ekya @National Identification and Registration Authority (NIRA) mu kaseera kano akokuzza obuggya ennangamuntu.
#ffemmwemmweffe

Radio Simba News