Habib Buwembo asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID Charles Twiine avuddeyo nategeeza nga Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Buwembo Habib eyavuganyako ku kifo ky’omubaka wa Rubaga South asimbiddwa mu masso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa emisango okuli okutiisatiisa okutuusa obulabe ku mukungu wa Gavumenti ow’amaanyi. Ono asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 11 March 2022.
Kinajjukirwa nti ku lunaku lwa bbalaza mu Lukiiko lwa Bannamawulire Habib yavaayo navumirira eky’omumyuuka wa Sipiika Anita Among gwagamba nti yakudaalira abantu abatulugunyizibwa.
Buwembo yayongera okukolokota Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM nga agamba esussizza okuwamba, okutulugunya wamu n’okutta abo abagivuganya.
Share.

Leave A Reply