General Kayihura akoze ekyukakyuka mu Police

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ssaabaduumizi wa Police mu ggwanga General  Kale Kayihura aliko enkyukakyuka z’akoze  mu kitongole kya Police. 

Assistant Inspector General of Police Abaas Byakagaba alondeddwa nga kati y’akulira abakozi mu kitongole kya Police ng’azze ku  buvunaanyizibwa obulala Afande Felix Kaweesi bweyali addukanya  eyattibwa mu gwokusatu gw’omwaka guno

Kayihura bino abirangiridde mu bubaka bweyayisizza ku nkomerero ya ssabbiiti gyetwakakuba amabega era nga mu bubaka bwebumu General Kale Kayihura  alonze Afande Moses Kafeero okuddira Byakagaba mu bigere ng’aduumira ettendekero erikuuma ba Ofiisa ab’okuntikko eriri e Bwebajja. Kafeero abadde mu ggwanga lya Rwanda gy’abadde mu kutendekebwa. N’enkyukakyuka endala mu ba Ofiisa ba Police abalala zikoleddwa.

Share.

Leave A Reply