Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 82 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Palamenti eragidde minisita annyonyole ku buwumbi 7

November 8, 2018 · Mubiru Ali

Olukiiko lw’Eggwanga olukulu lwalagidde Omubeezi wa Minisita ow’ebyensimbi David Bahati okunyonyola ku nsimbi Palamenti zeyayisa mu bukyaamu okusasula Muhamad Buwule Kasasa, ensimbi obuwumbi 7 ku ttaka lyeyaguza Minisitule y’ebyettaka mu bukyaamu nga lyaali lya Ssekabaka Muteesa II.
Kino kiddiridde Omubaka w’ekibuga ky’ e Masaka Mathius Mpuga okwekubira enduulu ng’ayagala Palamenti eyimirize ensimbi zino okusasulawa Buule kuba ensonga z’ettaka eryogerewako ziri mu Kkooti era nga lyasiibwako n’envumbo.