GENDA OBEERE MUNKOMYO OKUTUUSA LWOLIFA TOSAANA KUBEERA MU BANTU

Omusumba w’Abalokole Didas Mpagi aka Bakulu, era nga ye mukulu w’essomero lya Real Infants Primary School e Wakiso ayozezza ku munye oluvannyuma lw’omulamuzi okumusalira ekibonerezo kyakusibwa mayisa lwakutigiinya ebitundu ebifulumya obubi eby’abaana abalenzi mu ssomero lino, okusobya ku baana wamu n’okukukusa abaana.
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu International Crimes Division (ICD) David Wangutusi yasingisizza Mpagi emisango 6 egyokukukusa abaana wamu n’emisango 6 egyokusobya ku baana mu kaseera keyabeerera omukulu w’essomero lya Real Infant Primary School mu Wakiso kigambibwa nti emisango gino yagizza wakati wa 2018 ne 2019 nga yakabasanya abaana 13 nti era ebibonerezo wakubitambuliza wamu.
Abaana bano yategeeza bazadde baabwe nti yali wakubayamba wabula nga bali mu kisulo.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply