Gen. Muhoozi gyange obitebye – Kkooti ya Ssemateeka

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kkooti etaputa wamu n’okutawulula enkayana za ssemateeka mu Kampala eyise omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka era mutabani wa w’Omukulembeze w’eggwanga Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba alabikeko gyeri annyonyole ku bigambibwa nti yavuddeyo nalaga obwagazi bwokulembera Eggwanga Yuganda so nga akyali musirikale w’eggye lya UPDF atanawummula ekikontona ne Ssemateeka wa Yuganda wamu n’amateeka agafuga eggye lya UPDF.
Kino kiddiridde Munnamateeka Gawaya Tegulle okuvaayo naddukira mu Kkooti ng’awakanya ebikolwa bya Lt. Gen. Muhoozi eby’okwenyigira mu by’obufuzi eby’olwattu ngate akyali musirikale w’eggye lya UPDF.
Share.

Leave A Reply