Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Obwakabaka bukebezza aba BodaBoda obulwadde bwa mukenenya.

March 14, 2019 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abavubuka abagoba ba Boda Boda mu Kampala beekebeze obulwadde bwa Mukenenya ku bwerere.

Obwakabaka nga buyita mu Minisitule y’eby’obulamu, wamu n’ekitongole kya AIDS Information Center, bategese olusiisira lw’eby’obulamu ku Lubiri e Mengo, n’ekigendererwa eky’okukebeza abagoba ba Boda Boda mu Kampala bamanye webayimiridde ku kawuka akaleeta siriimu.

Minisita w’eby’obulamu n’Enkulaakulana y’abantu, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yasisinkanye aba Boda Boda bano naabasaba okwewala emize egiyinza okubaviirako okukwatibwa Mukenenya.

Yabakubirizza okwewala okunywa omwenge gw’obuveera n’okukomya okukozesa ebiragalalagala ebiyinza okubasindiikiriza okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.

Owek. Nankindu yabategeezezza nti, kyabuvunaanyizibwa omuntu okwekebeza endwadde zonna n’amanya bwayimiridde.
Yabalabudde obutabaako muntu gwebesiga ku kikwatagana n’obulamu bwabwe. Yasinzidde wano naabasaba bafuuke omumuli eri bannaabwe abatasobodde kujja kwekebeza nga basasaanya enjiri ekwata ku Mukenenya.

Kinajjukirwa nti ekibiina ky’amawanga amagatte kyalonda Ssaabasajja Kabaka okubeera emunyenye y’okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya mu Uganda.