Eyalina okuliyirirwa obuwumbi 2 bamugula obukadde 318 bwatafuna

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Peter Amara, bba wa muwala wa Nantalia Namuli omukyala eyalabikidde mu mivuyo gyokuliyirirwa obuwumbi 2 okuva mu Gavumenti ku nsonga z’ettaka agamba nti tebafuna yadde ekikumi ku nsimbi zino. Ono agamba nti Bannamateeka bwebaba bagamba nti babawa obukadde 318 baleete obujulizi obwoleka kino.
Ye Richard Buzibira, Munnamateeka eyeyolekera mu mivuyo gino agamba nti omusuubuzi Warren Mwesigye yagula ‘interest’ za Natalia Namuli ku bukadde 318m ku ttaka eriweza hectares 516. Mwesigye yasasulwa obuwumbi 2, wabula bannanyini ttaka abatuufu bavuddeyo.
Bano babadde balabiseeko mu kakiiko ka COSASE akakulirwa Omubaka Joel Ssenyonyi Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP. Bannamateeka 2 wamu ne Amara Peter abakwasizza CID wa Palamenti agende mu maaso n’okunoonyereza ku buli omu engeri gyeyenyigira mu mivuyo gya ssente zino obuwumbi 2.
Share.

Leave A Reply