Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 158 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abamu ku babaka mu Palamenti balayidde okulemesa Gavumenti okusonyiwa kampuni ezimu emisolo

May 12, 2017 · Mubiru Ali
Abamu ku babaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga beerayiridde okuwakanya ne ssekuwakanya yenna enteekateeka ya Gavumenti eyookusonyiwa amakampuni agamu emisolo naddala ag’abantu abagwira nga bino babireese mu bbago ly’etteeka eryomusolo ogwa Income Tax er’ennongoosereza ery’omwaka 2017.
Waliwo ekirowoozo ekireeteddwa Gavumenti eky’okusonyiwa amakampuni ag’abagwira omusolo omuli;  Kampuni ya AYA, Kampuni za Aghakan, eza Madhvan ssaako n’endala nga 22 ezigenda okuweebwa ekisonyiwo ekyomusolo.
Okunaku lwajjo ababaka ba Palamemti abatuula ku kakiiko k’embalirira y’eggwanga baliko alipoota gyebaaleese ekwata ku nnongoosereza ey’ebbago lino, wabula ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti tekigwanira n’akamu okusonyiwa amakampuni gano emisolo gyegandibadde gawa ate nga gakozesa ebintu bya bannayuganda byebasaasaanyaako ensimbi zaabwe omuli enguudo, amazzi n’ebirala bingi naye ate go negatasasula misolo ate nga n’ensimbi zegakola wano gakukumba nkukumbe negatwala ewaboobwo abaakuno nebasigala nga beerya nkuta. 
Bwabadde mu mboozi ey’akafubo ne Radio Simba, omubaka akiikirira essaza ly’e Bugweri mu Disitulikiti y’ Iganga , Abdu Katuntu agamba nti kibi okusonyiwa emisolo egy’engeri nga eno egifiiriza bannayuganda.