ENNONGOSEREZA MU TTEEKA LY’ETTAKA YAKUYAMBA AB’EBIBANJA – JUDITH NABAKOOBA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita w’Ebyettaka Judith Nabakooba; “Abantu abasoba mu 3000 mu Bukoto East Constituency, boolekedde okuba nga basengulwa ku ttaka. Bano bebamu ku bantu abasula ku tebuukye. Bino byonna bisobola kugonjoolwa nnongosereza mu bbago ly’ettaka nga kirina kukolebwa Palamenti.
Bwekinakolebwa ab’ebibanja bajja kubeera nga ku ttaka lyabwe nga tebatya kugobwa ku ttaka.
Etteeka lyaffe likyoleka lwatu nti abebibanja abasangibwa ku ttaaka emyaka 12 nga tebanakola ssemateeka wa 1995 babeera bannannyini bettaka eryo nebwaba tebalina biwandiiko ku ttaka lino.”
Abafffe, naye ani agoba abantu ku ttaka naddala ab’ebibanja?
Abagoba abantu ku bibanja baba bali luddawa ng’abantu bano basenga ku ttaka lino?
Ebyapa byebakozesa okugoba abantu ku ttaka babijjawa?
Share.

Leave A Reply