Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 370 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Obutabanguko mu maka bukudde ejjembe e Mubende

February 12, 2018 · Mubiru Ali

Ebikolwa eby'obutabaguko mu maka byeyongedde obungi  e Mubende nga kati byeraliikirizza abavunaanyizibwa ku mbeera z'abantu byabagamba nti bivudde ku bwavu obususse ennyo mu bantu. 

Maria Ndagire akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z'abantu mu Disitulikiti y'e Mubende agamba nti mu bbanga ery'emyezi omukaaga bafunye emisango  lukaaga ataano mu etaano (655) egy'obutabanguko mu maka mu Disitulikiti y'e Mubende yokka. 

Ndagire agasseeko nti obuzibu businze kuva ku bwavu obususse obungi e Mubende, abaana baafumbirwa tebanneetuuka,  obutasoma,  ebbula ly'emirimu kw'ogatta n'amawanga amagatte agali mu Mubende.