Emmundu 10 kwezo ezabbibwa zezakazuulibwa – Gen. David Muhoozi

Omubeezi wa Minsita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga, David Muhoozi avuddeyo nategeeza Palamenti olunaku olwaleero kubulumbaganyi obuzze bukolebwa basirikale ba Uganda Police Force ku Poliisi ezenjawulo nategeeza nga bwebasobodde okuzuula kati emmundu 10 kwezo ezabbibwa, abantu 22 bebakakwatibwa n’abalala 3 nebattibwa. Ayongeddeko nti ebikwekweto bikyagendera ddala mu maaso okuzuula emmundu endala.
Ku kya Sheikh Yahaya Mwanje, ategeezezza nti ono yakwatibwa aba Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) era nga bamukuumira mu bumu ku buduukulu bwabwe nga akaseera kano bajja kumutwala mu mbuga z’amateeka avunaanibwe.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply